Amawulire

Omubaka Kagabo yeetondedde Palamenti

Omubaka Kagabo yeetondedde Palamenti

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omubaka wa Bukoto South mu lukiiko lweggwanga olukulu, Twaha Kagabo yeetonze mu maaso ga palamenti ku bigambibwa nti yeeyisa obubi bweyatambuza mu palamenti obukadde bwa siringi 40 mu kaasi.

Omwezi oguwedde omubaka wa NUP, Kagabo yaloopa obukadde bwa Shs 40 eri ekitongole kya kaliisoliiso wagavt kubigambibwa nti zaamuweebwa sipiika wa palamenti Annet Anita Among e Kololo ng’ali wamu n’ababaka abalala.

Bino wabula sipiika yabiwakanya era naragira akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku mateeka n’okukangavvula akakulirwa omubaka Abdul Kantuntu okunoonyereza ku mubaka ono.

Mu lutuula olwaleero olukubiriziddwa Among, omubaka Kagabo yetonze olw’ebikolwa bye byagambye nti byali tebisaana era nga bikontana n’etteeka ly’empisa z’ababaka.