Amawulire

Omubaka Basalirwa ayambalidde Banka yénsi yonna ku byétteeka

Omubaka Basalirwa ayambalidde Banka yénsi yonna ku byétteeka

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omubaka wa Palamenti owékibuga kyé Bugiri, eyaleta etteeka erirwanyisa ebisiyaga mu ggwanga, Asuman Basalirwa atabukidde Banka y’ensi yonna olw’okusalawo okuyimiriza obuyambi bw’ewa Uganda mu by’ensimbi oluvannyuma lw’okussaawo etteeka erirwanyisa ebisiyaga.

Gyebuvuddeko Banka yategeeza nga bwebatagenda kuddamu kuwa Uganda buyambi bwa nsimbi nga bagamba nti etteeka erirwanyisa ebisiyaga likontana n’empisa zaabwe era lityoboola eddembe ly’obuntu.

Basalirwa wabula agamba nti okusalawo kuno kwakolebwa mu butamanya kuba ssemateeka wa Uganda takkiririza mu kusosola.

Ono era atabukidde ebigambibwa Bbanka y’ensi yonna nti abamu ku basiyazi bagaanibwa okufuna obujjanjabi mu malwaliro ga gavumenti.

Agambye nti omusawo yenna agaana omuntu yenna obujjanjabi olw’ekikula ky’omuntu oyo azza omusango.

Ono okwogera bino abadde ayogerako ne bannamawulire ku palamenti, nga aliwamu nábabaka okuli omubaka omukyala owa Tororo woman, Sarah Opendi, eyaliko minisita akwasisa empisa Nsaba Buturo n’abalala.