Amawulire

Omubaka Basalirwa asabye ku bbago lye Biyaga

Omubaka Basalirwa asabye ku bbago lye Biyaga

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Mike Sebalu,

Eyaleta ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga mu ggwanga, omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa, ayagala abantu abateberezebwa okwenyigira mu kulya ebisiyaga ne badduka munsi yabwe banonyezebwe bakomezebwewo.

Bwabadde ayanjula ebbago lino mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka akakulirwa Robinah Rwakojo, Basalirwa agambye nti kino kyakulemesa abamenyi b’amateeka abasuubira okukola ebikolobero oluvannyuma baddukire ebweru w’eggwanga nga banoonya obubudamu.

Era ayagala abasingisibwa emisango gy’ebisiyaga egy’amaanyi basibwe emyaka 10 wadde ng’ababaka abamu ku kakiiko kano bateeseza emyaka gibe 17 nga gizingiramu abaana abatanneetuuka, okusaasaanya akawuka ka siriimu, n’okusobya ku muntu nga tayagala okuyita mu mbeera yókuliibwa ebisiyaga.

Anyonyodde nti etteeka lino ligenderera kukola kunnongosereza mu mateeka agaliwo kisobozese okusiba emiwaatwa eriwo kati eri abatumbula ebisiyaga, ababinonyeza akatale ne biringa ebyo.

Mungeri yemu ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Justice Forum kisabye Bannayuganda okussa akazito ku bakiise baabwe mu palamenti okulaba ng’etteeka erirwanyisa ebisiyaga 2023 liyisibwa.

Wiiki ewedde omubaka wa Palamenti mu Munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa yaleeta ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga 2023 mu palamenti okusomebwa omulundi ogusooka.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Mengo mu makya ga leero, omwogezi w’ekibiina Abdulnoor Ssentongo akkaatirizza obwetaavu bw’eddoboozi ly’abalonzi okuwulirwa nga liyita mu bakiise baabwe mu palamenti kunsonga eno.