Amawulire

Omubaka awakanyizza eky’okuwa Akon ettaka e Mukono

Omubaka awakanyizza eky’okuwa Akon ettaka e Mukono

Ivan Ssenabulya

January 13th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mukono Hanifah Nabukeera, agumizza abatuuze be Mpunge, ku kutya kwebalina nti bandibagoba ku ttaka webatudde.

Ettaka eryogerwako liwerako yiika 80 wabula ekyatakudde abatuuze kwekuwlira amwulire nti ettaka lino lyawereddwa omugagga munnansi wa America, Akon okuzimbako ekibuga kyeyasubiza.

Ekitundu ku ttaka lino lya Buganda era kwekutudde embuga y’ekika ky‘Embogo’ atenga eddala erisnga obunene lya gavumenti.

Wabula kuno kuliko abasenze, baatuzizza olukiiko nabakulembeze nebababategeeza nga bwebatakyebaka, emitima gibakyekeera.

Omubaka Nabukeera asubizza okulondoola ensonga zino, wabula agambye nti waliwo nabantu abalina obwanayini ku ttaka lino nebyapa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *