Amawulire

Omubaka asibiddwa lwa bbanja

Ali Mivule

August 26th, 2014

No comments

Gomba mp

Omubaka omukyala owe Gomba, Nakato Katusiime asindikiddwa mu kkomera yeebake yo emyeezi mukaaga lwakulya bbanja n’atasasula

Katusiime  abanjibwa obukadde kinaana ng’abamubanja ba kkampuni ya Kenroy investments abamuwola ensimbi zino mu mwaka gwa 2011.

Omuwandiisi wa kkooti, Irene Akankwasa y’amusindise e Luzira oluvanyuma lw’omubaka ono okumubanja akaseera nga tasasula

Omubaka ono akwatiddwa n’atwalibwa butereevu mu kkooti gyebamuweredde ekibonerezo kya myezi mukaaga

Omubaka ono ng’ayita mu munnamateeka we Moses Nsubuga afubye okunyonyola nti yamaze okutegeeza ku pulezidenti ku kizimbu kye kyokka nga bamutegeezezza nti tebajja kumuyimbula okujjako ng’asasuddeko wakiri obukadde ataano

Bino bigenze okubaawo nga sipiika Rebecca Kadaga yakategeeza nga palamenti bw’etagenda kuddamu kweyimirira babaka beewola ensimbi kubanga amabanja gasusse nga n’abamu tebakyafuluma bizimbe nga batya okukwatibwa