Amawulire

Omubaka akubye banne kamulali

Ali Mivule

February 13th, 2014

No comments

pepper ar parliament

Wabaddewo akasattiro mu palamenti ya Buyindi, omubaka bw’akubye omukka gwa kamulali mu banaabwe.

Omubaka ono yoomu ku babadde bawakanya eky’okutondawo ekibuga ekimanyiddwa nga Telangana mu bukiikaddyo bwa Buyindi

Ababaka abawera baddusiddwa mu ddwaliro nga bali bubi ate nga yye omubaka akoze kino ategerekese nga Rajagopal,awummuziddwa