Amawulire

Omu kubatta Nagirinya Kkooti emukalize emyaka 40 mu kkomera

Omu kubatta Nagirinya Kkooti emukalize emyaka 40 mu kkomera

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekiwayi kya Kkooti Enkulu ekikola ku misango egyanaggomola kisindise Isaac Ssenabulya eyakakasa okuba omu kwabo abatta omuwala Maria Nagirinya ne dereeva we Ronald Kitayimbwa mu mbuzi ekogga akulunguleyo emyaka 40.

Omulamuzi Isaac Luswata, ategeezezza nga Ssenabulya bweyazza emisango ebiri egy’okutta, ebiri nga gyakubbisa lyanyi n’emilala ebiri nga gyakuwamba nga gyonna awamu ekibonerezo nga gikusse mu vvi kubeera kuwanikibwa kalabba.

Omulamuzi ategeezezza nga bwekimuluma Ssenabulya akyali muvubuka muto, alina n’amaanyi agakola bweyenyigira mu bikorwa ebifaanananko ng’ebyo eby’obumenyi obw’amateeka.

Wabula agamba nti olw’okuba gwegubadde omulundi gwe ogusooka okuzza omusango nga kwotadde n’okukkiriza okuzza omusango kwekusalawo namuddiramu nga amusalira ekibonerezo.

Nga 20/ 02, Senabulya yategeeza Kkooti emuwe ekibonerezo ekisaanidde era neyetondera ab’enganda zómugenzi.

Omulamuzi era alagidde abatwala ekkomera okusalako emyaka 3 ku kibonerezo ono gyamaze ku alimanda asigazeewo emyaka 37.

Omusango Ssenabulya yaguzza 28/02/2019 ng’ali wamu n’abantu abalala abaali batambulira ku pikipiki bwebaakozesa ekimundu ekikolerere ne bawamba Nagirinya ne dereeva we Kitayimbwa eri mu bitundu ebye Lugujja.

Bano oluvanyuma lw’okubatta emilambo gyabwe bagisiba mu kutiya ne bagenda bagisuula mu bitundu ebye Mukono.

//////////////