Amawulire
Ombumbejja Muggale Aterekeddwa Akawungeezi ka Leero
KASUBI
Bya Shamim Nateebwa
Enkuminenkumi zabebitiibwa nga bakulembedwamu Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga beyiye e Kasubi nabulagala mu kutereka Ssenga wa Ssaabasajja Kabaka, Omumbejja Beatrice Julian Muggale aterekeddwa mu Masiro ga ba Ssekabaka e Kasubi Nabulagala.
Mu Kusooka wabaddewo okusabira Ssenga wa Ssaabasajja, ono ku lutikko e Namirembe.
Nnaalinnya Dinah Kigga yatuusizza obubaka bwa Beene.
Ssaabasajja asiimye emirimu omugenzi gyakoledde olulyo Olulangira, Obwakabaka n’eggwanga Uganda awamu. Omugenzi afiiridde ku gy’obukulu 90.
Yazalibwa ngennaku zomwezi 27th mu womusanvu mu 1927 nga yaseredde nga 08th Owomwenda 2017.