Amawulire

Olw’okaano lw’obwa Sipiika: Ssemujju wa’kuvuganya

Olw’okaano lw’obwa Sipiika: Ssemujju wa’kuvuganya

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Kiira Ibrahim Ssemuju Nganda alangiridde entekateeka ze, okuvuganya ku kifo kya sipiika mu palamenti, ey’omulundi ogwe 11.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku palamenti, Ssemujju alaze obumalirivu okukola omulimu guno, olwobumanyirivu bwalina kuba amaze mu palamenti emyaka 20, agenda kuyingira kisanja kyakusattu.

Ssemujju era agambye nti yali mu palamenti ezesooka, nga munnamauwlire nayiga bingi ku byali bigenda mu maaso.

Kati ategezezza nti atndise okukunga obuwagizi okuva mu bibiina ebirala.

Ssemujju memba wa FDC ngera ya nampala wabavuganya gavumenti.

Ssemujju kati yegasse ku balala okuli sipiika Rebecca Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanya nabalala abalaze obwagazi mu kifo kino.

Kati okulonda kwakuberawo mu lutuula olunasooka mu May womwaka guno, ngamangu ddala ngababaka bakalayira.