Amawulire

Olwokaano lw’anakwata bendera ya FDC lunyikidde

Olwokaano lw’anakwata bendera ya FDC lunyikidde

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

File Photo Muntu ne Besigye

File Photo Muntu ne Besigye

Olwokaano kw’okufuna anakwatira ekibiina kya FDC bendera lusigaddemu abantu kati babiri oluvanyuma lw’okusatu okupondoka

Moses Byamugisha yeeyasooka okutandika kakuyege kyokka nga kati abivuddemu.

Mu kaseera kano Dr. Kiiza Besigye  ne Maj Gen Mugisha Muntu beebasigadde mu lwokaano, era nga bano beebagenda okweriga nga okulonda kutuuse.

Twogedeko ne ssentebe bwakakiiko kano Dan Mugarura, natutegeeza nti Byamugisha  agambye nti ekimuwandudde Kwagala kuzza bumu mu kibiina.

Wabula Mugarura  agambye nti  okwesimbawo kwa Byamugisha kubade kubusabuusibwa abantu abawerera dala, nga bagamba nti abade tawezze myaka 35 egyogerwako.