Amawulire
Olwaleero Sande yamatabi
Abakusitaayo olwaleero bagenda kwegatta ku nsi yonna, okukuza Sunday eyamatabi, oba Palm Sunday.
Luno lwerunaku oba Sunday ekulemberamu Easter, eyamazukira gomwana wa Katonda.
Ku lunnaku luno abakiriza bajjukira, olunnaku Yesu lweyayingira mu kibuga Yerusalemi, mu buwanguzi nga yebagadde endogoyi.
Kati mu bubaka bwe eri abakristu, Omulangira wa Kkereziya Paapa Francis agambye nti mu kiseera kino ngekisiibo kgenda okukomekerezebwa kikulu nnyo okwefuula abaavu, wabula begagawade nekirabo kyokwagala.
Kino agambye nti kirina okukolebwa okuyita mu kugabana nabali aobubi era abatalina.
Ate abakulembeze ne bannabyabufuzi nabo bajjukiziddwa okwefumintiriza, nga bakozesa ekiseera kino okusobola okutereza obukulembeze bwabwe.
Omulanga guno gukubiddwa omumyuka wakulira ekibiina kya FDC mu Buvanjuba bwe gwanga Salaam Musumba.
Agambye nti embeera yebyobufuzi mu Uganda tewa maanyi, nga waliwo obwetaavu abakulembeze okudda eri Katonda.
Agambye nti kano kekaseera okukyuka.