Amawulire

Olwaleero lunnaku lwamaaso

Olwaleero lunnaku lwamaaso

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Uganda olwaleero yegasse kunsi yonna, okukuza olunnaku lwamaaso olwa World Sight Day.

Olunnaku luno, lukuzibwa ku Lowkuna olwokubiri mu mwezi ogwa Okitobba nekigenderwa okumanyisa abantu ku bukulu bwokukuuma amaaso.

Akulira ebyobujanjabi mu minisitule yebyobulamu Dr Charles Olaro mu bubaka bwe, asabye abantu okulabairirra obulungi amaaso gaabwe okwewala endwadde eziyinza nokubavirako okufuua abazibe.

Mu kiseera kino nga tekinologiya yeyongedde, Dr Olaro agambye nti abantu batekeddwa okukakasa nti basomera mu kitangaala ekimala okugeza kuzi kompyuta nebirala.

Emikolo gyegwanga gigenda kubeera Moroto nga gyakuvugira ku mubala “Love your eyes to ensure that everyone counts”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *