Amawulire

Olwaleero lunnaku lwa ssiriimu

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Olwaleero 1st December, olunnaku olukuzibwako okwejjukanya ku kawuka ka mukenenya.

Olunnaku luno lwabangibwawo ekibiina kyamawanga amagatte mu mwaka gwa 1988, okumanyisanga abantu ku kabi akali mu ssiriimu nokujjukira abanagi abaluguzeemu obulamu.

Ebibalo okuva mu kitongole kyebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization biraga nti abantu obukadde 35 bebafudde ssiriimu, okuva ekirwadde ino lwekyakakasibwa mu nsi.

Ebibalo biraga nti abantu obukadde 36 nomusobyo bekebezza nekizuuka nga balwadde.

Ate kuno okwaffe mu Uganda, okusinziira ku ministry yebyobulamu abantu 1.5 balwadde, ngemitwalo 90 bebali ku ddagala.

Nga bakozesa omubala “Everybody Counts, oba bulimomu akawatibwako WHO eyagala wabeewo obujanjabi obwanamaddala naddala ate nga busoboka eri bonna.