Amawulire

olwaleero lunnaku lwa “musujja gwansiri”

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Sam Ssebuliba

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lwokulwanyisa akatayabaga komusujja gwensiri, the World Malaria Day.

Ebibalo okuva mu ministry yebyobulamu biraga nti omusujja gukutte kiffo kya ku mwanjo okutta abantu, ngomwaka 2017 abantu 27% abafa bafa amu sujja gwa nsiri.

Mu Uganda era ku bantu 1000, 478 babaeera balwadde ngokusinga baana abali wansi wemyaka 5 nebamaama abaembuto.

Kati omwogezi wa ministry yebyobulamu Vivian Sserwanja agaumizza abantu nti gavumenti tetudde, yakugenda mu maaso okulwanyisa omusujja.

Bino webijidde ngobutimba bwensiri obukadde 27 bwekagabibwa eri abantu okwetoola egwanga.

Emikolo gye gwanga emitongole gigenda kubeera mu district ye Mpigi nga givugidde ku mubala “Ready to Beat Malaria”

Mungeri yeemu, waliwo kawefube omugya eyakatongozebwa omukulembeze we gwanga nate okulwanyisa omusujja gwensiri.

Ate ministry eraze obukulu bwokutta emikago mu kulwanyisa omusujja gwensiri.

Okusinziira ku Dr. Olaro Charles, akulira ebyobujanjbai mu ministry yebyobulamu, okuyita mu kwegatta yengeri yokka ejja okuyamba okulondoola nokussa obulungi mu nkola entekateeka, egendereddwamu okulwanyisa omusujja gwensiri.

Kati ono asabye abagabi bobuymabi nabantu ssekinoomu okuvaayo, okwegatta ku Uganda okutukiriza ekirubirirwa, okumalawo omusujja gwensiri omwaka 2020 wegunatukira.