Amawulire

Olwaleero abayisiraamu bakuza Eidi

Olwaleero abayisiraamu bakuza Eidi

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba ne Benjamin Jumbe

Abayisiraamu mu gwanga, olwaleero bagasse ku banaabwe awalala nemu nsi yonna okukuza Eid Al adhuha.

Edi eno ekuzibwa mu kujjukira omubalirivu bwa Ibrahim okusadaaka mutabani we, nga Katonda bweyali alagidde.

Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wekitebbe kyomusiraamu mu gwanga ekya Uganda Muslim Supreme Council Alhajji Nsereko Mutumba asabye abayisiraamu, bonna okusala ebisolo ate bagabaneko ne balirwana baabwe.

Wabula agambye nti okusala ebisolo kutekeddwa kukolebwa, ngokusaala kuwedde.

Okusaba kugenda kubeera ku muzikiti omukulu ku Kasozi Kampala Mukadde, ku muzikiti omukulu nga kwakulembrerwamu Mufti wa Uganda Shaban Ramathan Mubajje.

Ate abayisiraamu basabiddwa okusabira egwanga.

Omulanga gukubiddwa Imam wa palamenti, Latiff Ssebagala ku Idd eno adhuha.

Bwabadde ayogerako naffe omubaka Ssebagala agambye ntu egwnaga liyita mun kusomozebwa okwamanyi, nga twetaaga Katonda.

mungeri yeemu poliisi egumizza abayisiraamu mu gwanga, ku bukuumi mu kujaguza Eddi olwaleero.

Bino webijidde ngokwetoolwa egwnaga, embeera ya bunkenke omuli bogwegugundo nga banansi bawakanya okusibwa kwomubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi ne Francis Zaake.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima agambye nti tewali kutya kwonna, poliisi yakubaawo okubakuuma.

Wano asabye abakulembeze bamadiini okwegatta ku poliisi okubunyisa engiri yemirembe.