Amawulire

Olutalo lwe Ukraine lugenda kukosa nnyo Uganda

Olutalo lwe Ukraine lugenda kukosa nnyo Uganda

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Olutalo olugenda mu maaso mu gwanga lya Ukraine lwolekedde okukosa ennyo Uganda, nga kigenda kupaluuula bbeyi yamafuta ate kinabuule nensimbi ya Uganda.

Okulabula kuno kukoleddwa, eyali pulezidenti wa FDC, Dr Kizza Besigye era eyavuganyako ku bukulembeze bwegwanga ngalaliise abakulembeze nti basaanye bakimanye.

Bwabadde ayogerako naffe Dr Besigye agambye nti munsi wonna tewali lutalo, lutayinza kukosa Uganda ngagambye nti kirabikira mu ntalo zonna, Uganda zebaddenga etwala abajaasi okulwana.

Alagudde nti obulabe bugenda kweyolekera nemu kkoligo ezatereddwa ku Russia, amawanga agenjawulo.

Russia yalumbye Ukraine wiiki ewedde, oluvanyuma lwokusika omugwa nolutalo lwebigambo olubaddewo wakati wamawanga gombi okumala ebbanga.