Amawulire
Olupapula lwa Daily Monitor lusajjakudde
Bya Judith Atim
Olwaleero olupapulalwo oluganzi olwa Daily Monitor bweluweza emyaka 25 nga lukuweereza mu by’amawulire ag’amazima era agesigika.
Welutuukidde olwaleero nga olupapula lwa Daily Monitor wamma nga luganzi nyo nga era bangi bakyalweyunira .
Mu myaka gino 25 wabula era temubuzeemu maggwa nga mu 2013 lwaggalwa gavumenti okumala ennaku 11.
Ssenkulu wa Monitor Publications Tony Glencross agamba kikulu n yo nga olupapula lweyongera buganzi buli lukya n’abasomi okwongera okulwettanira.