Amawulire

Olunnaku Lwa’ba-Taata

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2017

No comments

Olwaleero lunnaku lwaba-Taata mu nsi wonna.

Bya Benjamin Jumbe

Ebibalo okuva mu kitongole kyabaana ekyekibiina kyamawanga amagatte ekya, UN Children’s Fund biraga nti abaana abasing wakati wemyaka 3 okutuuka 4, tebafuna Mukisa okumala obudde neba kitaabwe naddala mu butto.

Bino byazuliddwa oluvanyuma lwokunonyereza kwebakoze mu mawanga 74 nga alipoota yafulumiziddwa wakati mu kwetegekera olunnaku lwaba-Taata ona Father’s Day, olukwatiddwa okwetoola ensi mu mawanga agali mu 80.

Abatto abali mu bukadde 40 mu myaka 3 ku 4 nga byebitundu 55% bebatukiriddwa nebatottola nti tebalabira ddala kuba kitaabwe, okubasomesa nokuzanyamu nabo.

Akulira ebyebibalo mu kitongole kya UNICEF, Laurence Chandy, akubye omulanga nti ba Taata batekeddwa okuwa abaana baabwe obudde.