Amawulire

Olunaku lw’okulonda ba ssentebe lwakuwumula mu gwanga lyonna.

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

 

 

Ministry ekola ku nsonga z’abakozi ba government etegeezeza nga olunaku olwa nga 10th – ku lw’okubiri luno bwerugenda okuba olw’okuwumula, kisobozese abantu okugenda okwetaba mu kulonda abakulembeze bebyalo.

Kinajukirwa nti kuno okulonda kwakusimba mu mugongo, era nga kwakutwala esaawa emu yokka, kale nga  akakiiko ak’ebyokulonda kaasaba nti lubeera lwakuwumula okusobozesa abantu bonna okwetaba mukulonda kuno.

Kati bwabadde alangirira okusalawo kuno , minisita  omubeezi akola ku government ez’ebitundu Jenifer Namiyangu agambye nti kigenda kugasa naddala abakozi ba government abeetaga akadde nabo okwetaba mu kulonda kuno.

Kuno okulonda kwakubaamu  ebyalo 60,801  nebyo ebyakatondebwawo