Amawulire

Olunaku lw’amadda ga Nuhu Mbogo lufuuke lwa gandaalo.

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Supreme   mufti  wa  Uganda  sheikh  Siriman  kasule  Ndirangwa  asabye  government  okukiriza  olunaku  lw’amadda  ga Nuhu  Mbogo  kyabasinga  okuva  mubuwanganguse  lufuuke   olw’okuwumula mu  Uganda  nga  bweguli ku  naku  ez’abajulizi.

Supreme  mufti  agamba  nti   mbogo  ye  muzira   w’obusiraamu  kubanga  yalwanirira  obusiraamu  mu  Uganda  natuuka  n’okuwangangusibwa  okutwalibwa  mu  mawanga  amalala  lwa  kwagala diini  ye .

Wano  wasabidde  ababaka  abali  mulukiiko  olw’eggwanga  okubakolera  ku nsonga  yabwe  ey’okulaba  nga   olunaku  luno  lufulibwa  olw’okuwumula  wonna  mu  ggwanga.

kinajukirwa nti luno olunaku lugenda kukuzibwa nga   15  /07/18 wali  mumaka  go  mulangira   Dr  hajji  Kasimu  Nakibinge  Kakungulu .