Amawulire

Olunaku lwábavubuka mu Africa lwa nkya

Olunaku lwábavubuka mu Africa lwa nkya

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Uganda olunaku lw’enkya nga 1st November egenda kwegatta ku Africa yonna okukuza olunaku lw’abavubuka mu Africa 2023.

Olunaku luno lukuzibwa okusiima abavubuka abatuuse ku buwanguzi mu obuyiiya, n’okugumira embeera y’abavubuka ba Afrika okwetoloola ssemazinga wa Afrika ne mu nsi endala.

Kiggumiza obukulu bw’enteekateeka ezikulemberwa abavubuka ezisukkulumye ku nsalo, nga zikolagana wamu okutuuka ku biseera eby’omu maaso ebirungi n’okutuuka ku Afrika gye twagala n’ebiruubirirwa bya 2063.

Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire okuva mu Media Centre mu Kampala, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana, Sarah Mateke agambye nti omwaka guno bakujaguliza wansi wómulamwa ogugamba nti tukyalinayo mailo kakadde ezokutambula , omugendo gwa bavubuka ogubuuka nsalo.