Amawulire

Olukungana lwa CHOGM lugudewo mu butongole mu kibuga Kigali

Olukungana lwa CHOGM lugudewo mu butongole mu kibuga Kigali

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Olukungaana lwabakulmbeze mu mukago, gwamawanga agaliko amatwale ga Bungereza, olwa Commonwealth Heads of Government Meeting (CHOGM) lugguddwawo mu butongole olwaleero mu kibuga Kigali mu gwanga lya Rwanda.

Emyaka gibadde giweze 3 ng’olukungaana luno terutuula, olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Olukungaana lwaba minisita bamawanga abensonga zebweru lwerwasoosewo olunnaku lweggulo, nga bateesa kungeri yokuzza amawanga anegulu okuva mu kabi ka ssenyiga omukambwe.

Olukungaana lwa CHOGM omulundi guno luvugidde ku mubala mu lunyanyimbe Delivering a Common Future: Connecting, Innovating, Transforming, focusing on three topical issues.

Ssabawandiisi womukago guno HE Patricia Scotland mu bubaka bwe obwakulembeddemu, yasabye zzi gavumenti okubaga amateeka aganaseesa mu nkulakulana eyokudda engulu.