Amawulire

Olukiiko olulwanyisa COVID-19 lugenda kutuula

Olukiiko olulwanyisa COVID-19 lugenda kutuula

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Olukiiko olulwanyisa ssenyiga omukambwe mu gwanga lugenda kuddamu outuula olwaleero, okuteesa ku nsonga zokuggulawo amasomero.

Bano wiiki ewedde baasisinkana omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni wabula nagana entekateeka gyebaali bamwanjulidde okuggulawo amasomero nabalagira baddemu okutuula okubaako byebekenneenya.

Pulezidenti Museveni yalaga obwetaavu bwokusooka okugema abasomesa, abakozi mu masomero nabayizi abakuze abali mu myaka 18, nga yalabula ku muyaga gwobulwadde ogwokubiri.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba agambye nti olukiiko lugenda kutuula nga lwakukubirizibwa Ssabaminisita wegwanga.

Mungeri yeemu gavumenti emalirizza entekateeka yokuddamu okwekenneenya ennambika yebisomesebwa mu masomero ga primary ne secondary aga wansi, ngamasomero teganagulawo.

Ekitongole ekibaga ebisomesebwa mu masomero, National Curriculum Development Centre (NCDC) minisitule yebyenjigiriza yabawa ekkatala okukola enkyukakyuka mu curriculum.

Akulira ekitongole kino Dr Grace Baguma agambye nti nkomerereo ya wiiki eno banaaba bamalirizza buli kimu.

Okusinziira ku Dr Baguma, balina byebatunuliidde era byebasimbyeko essira ebyenkizo mu kusoma kwabaana.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba agambye nti mu kino baalubiridde okubaako amasomo gebasuula olwobudde bwokusoma obutono obuliwo.