Amawulire

Olukiiko lw’abayisiraamu lugudde butaka

Olukiiko lw’abayisiraamu lugudde butaka

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

File Photo: Kaihura nga

File Photo: Kaihura ngali na basilamu

Okulwanagana wakati w’abayisiraamu ssikwakuggwa kati.

Olukiiko oluyitiddwa akulira poliisi Gen Kale Kaihura terugenze  mu maaso oluvanyuma lw’ekibinja kye Kibuli obutawereeza bakiise

Abakulembeze b’abatabbuliiki batuuse ku ku poliisi e Kireka okwetaba mu Lukiiko luno kyokka nga terusobola kugenda mu maaso.

Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura naye tabaddewo ekirese abatabbuuliki nga basobeddwa.

Bano ababadde bakulembeddwaamu Yahaya Mwanje agamba nti kati bakutandika okwekalakaasa okulaba nti eddoboozi lyaabwe liwulirwa

Abatabbuuliiki bemulugunya ku banaabwe abakwatibwa entakera