Amawulire

Olukiiko lwaba Minisita lulagidde abasawo basasurwe

Olukiiko lwaba Minisita lulagidde abasawo basasurwe

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Olukiiko lwa ba Minisita olwatudde olunaku lwa ggyo mu maka g’omukulembeze w’eggwanga kitegerekese nti lwasazeewo Minisitule y’eby’ensimbi okunoonya mu bwangu ensimbi esasule abasawo bakyakayiga (Interns) wamu n’abo abanoonya obukugu ( Senoir House Officers) nga mukiseera kino bonna bateeka wansi ebikola.

Ssaabawandiidi w’ekibiina ekigatta abasawo ki Uganda Medical Association Dr Herbert Luswata, atubuulidde nti enkya ya leero balina ensisinkano n’abakungu okuva mu Minisitule y’eby’obulamu okusalawo butya ebilagiro by’olukiiko lwa ba Minisita ekiseera mwebigenda okuteekerwa mu nkola.

Oluvanyuma lw’okusisinkana Ministule, nabo bakwevumba akafubo era okusalawo oba badda ku milimu oba banaamala kusasurwa balyoke baddeyo bakole.

Ku ky’abasawo abakugu ababebuzibwako abayagala omusaala gwabwe gutuukilire n’ekitiibwa kyabwe n’okubakyusiza erinya, Dr Luswata atutegeezezza nga zzo enteseganya kunsoga zabwe bwezikyagenda mu maaso.

Olunaku lwa ggyo, wabaddewo okwekalakaasa kw’abasawo ba kyakayiga mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga baagala bano basindikibwe mu malwaliro batandike okukola ekisaanyizo ekibafula abasawo abajjuvu, gavumenti kyeludde okukola.

Webwazibidde nga abantu 8 bebakwatiddwa nga Poliisi ebalanga kwenyigira mu kukuba lukungana olumenya amateeka.