Amawulire
Olukiiko lwa Buganda kugenda kutuula leero.
Bya Shamim Nanteebwa
Olunaku olwaleero olukiiko lwa Buganda luganda kudamu okutuula okuteesa ku nsonga ezizimba egwanga- Buganda.
Kinajjukirwa nti olukiiko olwasembayo okutuula lwaliwo mu mwezi ogw’omunaana n’eruteesa ku byayogerwa ssabasajja kabaka nga aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 25.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bubakabwe, yasaba abakiise b’olukiiko okulondoola emirimu egikolebwa mu bitongole by’obwakabaka eby’enjawulo, era nakubirizza abantu okufaayo ennyo okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Olukiiko lwa leero Kati lusubirwa okutandika ku saaawa nnya ez’okukamya, era nga katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga wakutegeeza obuganda embeera omutanda gyalimu, kko n’entekateeka endala.