Amawulire

Olukiiko lugudde butaka- Loodimeeya ayimbuddwa

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Lukwago arrested new

Olukungaana olubadde lutegekeddwa abavuganya gavumenti wansi w’ekisinde kya 4GC lugudde butaka

Kiddiridde poliisi okubesooka n’eyiwa basajja baayo ku kifo awabadde walina okubeera olukiiko luno e Katwe ne mu maka g’abakulembeze b’abavuganya

Omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante agambye nti babadde tebasobola kugenda mu maaso na lukungaana oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa loodimeeya.

Yyo poliisi amaze okuyimbula loodimeeya akwatiddwa emisana ga leero.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi agambye nti meeya yeeyabasabye bamukwate era nga bbo tebamulinaako misango

Bbo abana beyakwatiddwa nabo bbo bakyaggaliddwa.

Ku bano kuliko amyuka loodimeeya Suleiman Kidandala, meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa, Kasirye Nganda -Mulyanyama, ne kansala we Makindye Allan Ssewanyana.