Amawulire

Oluguudo lwe Nakalama-Tirinyi- Mbale lusalidwako amazzi.

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba.

Ekitongole ekikola ku by’enguudo  ekya Uganda National road authority UNRA kirabude abantu abakozesa oluguudo olugatta Nakalama-Tirinyi- ku Mbale okugira  nga balwesonyiwa kubanga mukaseera kano amazzi galusazeeko.

Twogedeko ne Allan Ssemppebwa nga ono yamyuka ayogerera ekitongole kino  nagamba nti oluguudo luno naddala mukitundu awakyadabirizibwa lwonna lujudde mazzi, kale nga sikyangu kyakuluyitamu.

Ono agambye nti mu kaseera kano company edabiriza oluguudo luno mpaawo kyamaanyi kyeyinza kukola okujjako okulinda amazzi gakakane.

wabula ono agamba nti abantu abagenda e Mbale bagwana bagire nga bakozesa oluguudo lwe Nakalama-Tororo- Mbale  okutuusa nga wano wakoleddwa.