Amawulire

Okwewandiisa kuggwa mwaka gujja- obukadde 14 bawandisiddwa

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Gen aronda Nyakiarima

Abantu abasoba mu bukadde 14 beebakawandiisibwa okufuna endaga Muntu

Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima y’ategeezezza bino kyokka n’agattako nti okuwandiisa abantu kwakugenda mu maaso okutuuka omwaka ogujja naye nga kino kyakubaawo ku ma gombolola

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen Aronda agambye nti nsalessale ku kuwandiisa abantu owa nga 11 tagenda kujjibwaawo era bw’aggwaako , ebifo ebyenjawulo omuwandiisibwa abantu bigenda kujjibwaawo olwo abagaala okwewandiisa bagende nga ku magombolola

Aronda agambye nti basanyufu nti basobodde okuwandiisa abantu bangi yadde nga tebannatuukiriza kigendererwa kyaabwe eky’abantu obukadde 18 .

Okugaba kaadi kugenda kutandika akadde konna nga kuno kwakumala omwezi mulamba

Ku balina obulemu abeemulugunya ku nteekateeka eno, Gen Aronda bino bw’abategeezezza abantu baabwe okubayambao

Wabula ku b’ebidiinidiini abavumirira enteekateeka eno, Gen Aronda agambye nti bajja kukwata bakwate kubanga byeboogera tebasobola kubiwuliriza