Amawulire

Okwetwala mu malwaliro amanene kyongedde ku mujjuzo e Kawempe

Okwetwala mu malwaliro amanene kyongedde ku mujjuzo e Kawempe

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Okwetwala mu malwaliro amanene awatali kulungamizibwa okuva eri abavunanyizibwa kinokodwayo okuba ekimu kukiviriddeko eddwaliro lya gavt erya Kawempe National Referral Hospital okuba nomujjuzo ogusukiridde.

Eddwaliro lino likyasumbuyibwa ne kizibu kyomuwendo omunene ogwa bannakazadde abeyuna okuzaalirayo nokunywerayo eddagala okuva mu malwaliro amatono aga health center IIIs, nga gano gazaaliza buzaalisa tegalongoosa

Kyokka byo ebikozesebwa ku ddwaliro e Kawempe bibulamu nomuwendo gwabasawo okukola ku bungi bwa balwadde.

Mu kwogerako naddukanya eddwaliro lino Grace Rubaale agambye nti buli lunaku e Kawempe bafuna abalwadde abapya 500 ekibakalubirira enyo mungeri yokubatuusako empereza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *