Amawulire

Okwetegekera omusango gwa Jamil Mukulu kutandika

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2018

No comments

By Ruth Anderah

File Photo: Mukulu ngali ku npingu

Okwetegekera okutandika okuwulira omusango gweyali omuddumizi wabayekera ba Allied Democratic Forces Jamil Mukulu kusubirwa okutandika olwaleero mu maaso gomulamuzi Eve Luswata owa kooti ewozesa ba kalintalo wano mu  Kampala.

Mukulu ngavunanibwa nabalala 34 awerenemba na misango gya butujju, obutemu, nga yasooka naggalirwako e Nalufenya mu district ye Jinja nasimbibwako nemu maaso gomulamuzi wa kooti ento e Jinja mu 2015 nga tanasindikibwa Luzira.

Jamil Mukulu avunanibwa omusango gwobutujju gumu,  emisango 7 egyobutemu, egyobwa kkondo 9 okutyoboola eddembe lyobuntyu nemiralala egyekuusa ku kuyambako nokuseesa mu bikolwa ebyobutujju.

Ono era aliko nemisango emiralala 4 egyokugezaako okutemula nomusango gumu ogwokubeera mu kabinja kabattujju.

Mukulu avunanibwa okuteeka abantu mu bitundu bye Rwenzori ku bunkenke nga kigambibwa nti yekuusa neku kitta bayisiraamu mu mwaka gwa 2013 ne 2015, okutta absirikale ba poliisi 2 e Bugiri.

Jamil Mukulu bamukwatira mu gwanga lya Tanzania mu April wa 2015 neblyoka bamuzza mu Uganda.