Amawulire

Okuzaala okusukkiridde kukonyeza ebyenfuna bya uganda.

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba

Akulira banka enkulu eya  uganda Prof. Tumusiime Mutebure ategeezeza nga kukona kwa uganda mu by’enfuna bwekivudde kubanna- uganda abazaala obutedizza

Bino mutebeire abyogeredde wano mu kampala mu lukungana olw’okukubaganya ebirwoozo ku by’enfuna bya uganda mu myaka 30 egyakayita.

Ono agamba nti okutandikira mu myaka gye 80s eby’enfuna bya uganda byakolebwamu enkyukakyuka ezitali zimu, era nebitandika okukula, kyoka  omuwendo gw’abanna- uganda ogukula buli kadde kati gutandise okuzza embage ekyali kituukidwako, olwabantu abatalina mirimo okweyongera.

Kati ono asabye banekolera gyange okukwatizaako govt okulaba nga kino kikoma.