Amawulire

Okuyigga akalulu mu Arua Kukomekerezeddwa.

Okuyigga akalulu mu Arua Kukomekerezeddwa.

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba

Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi akalaatidde abantu be Arua municipality okwanguwa okukola okusalwo ku muntu gwebagenda okulonda, kubanga akadde kawedeyo.

Ono abyogerede mu Arua bwabadde yegasse ku Casiano Eziat Wadiri agidde kubwanamunigina okuyigga akalulu.

Ono agambye nti akalulu kano kayinza okubayita mungalo singa banaamala nebalemwa okukaanya ku mulwanyi omu gwebalina okusimbawo

Ate kuludda lwa NRM  omukulembeze w’egwanga Kaguta Museveni bwatuse ku nsonga z’ebyokwerinda bano abagambye nti tebagwana kuddamu kutya kubanga ekibuga kyonna amaze okukisaamu camera , era nga zino zigenda kutuukira dala ne mu Arua.

Kati bano abagambye nti bamusindikire Nusura Tiperu kubanga ono yagenda okusobola okutuukiriza emirimo Omugenzi Abiriga gyeyali atandiseeko.