Amawulire

Okuwandiisa emmotoka kwongezeddwaayo

Ali Mivule

December 10th, 2013

No comments

car bond

Okuddamu okuwandiisa emmtoka zonna kwongezeddwaayo okumala emyezi esatu

 

Ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority kitegeezezza nti abalina emmotoka babongedde emyezi esatu okubeera nga bazzeemu okufuna empappula ku mmotoka zaabwe.

 

Okwongezaayo kuno kuddiridde okwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti nti abantu bang tebamanyi nti balina okuddamu okuwandiisa emmotoka zaabwe.

 

Abakungu ba URA nga bakulembeddwaamu Allen Kagina era bagambye nti wabaddewo okujingiririra numberplate z’emmotoka nga bino byonna bagaala bikolebweeko mu kuddamu kuwandiisa emmotoka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *