Amawulire

Okuwandiisa abavuganya kubwa ssentebbe kugaddwa

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ivan Ssenabaulya, Damalie Mukhaye ne Sadat Mbogo

Okusunsulamu abanaavuganya kubwa ssentebbe bwe byalo kugaddwawo akakwungeezi ka leero.

Okuwandiisa kuno kubadde kwa nnaku bbiri, byonna mu kwetegekera okulonda kwanga 10th July.

Omumyuka womowgezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya ategezeza ntz antionda kutambudde bulungi.

Okulonda kugenda akubeera mu byalo emitwalao 6 mu 800.

Gavumenti erangiridde olwanga 10th ku lw’okubiri lwa wiiki ejja ngolunnaku olwokuwuwmmula, kisobozese abantu okugenda okwetaba mu kulonda abakulembeze bebyalo.

Kinajukirwa nti kuno okulonda kwakusimba mu mugongo, era nga kwakutwala esaawa emu yokka.

Kati bwabadde alangirira okusalawo kuno, minister omubeezi owa government ez’ebitundu Jenifer Namiyangu agambye nti kigenda kugasa naddala abakozi ba government abeetaga akadde nabo okwetaba mu kulonda kuno.

Abalonzi mu byalo 3,800 bolekedde okusubwa okulonda ba ssentebbe be byalo.

Kino kibikuddwa minister omubeezi owa gavumenti ezebitundu Jennifer Namuyangu, ngagambye nti waliwo okubusabuusa nobutakwatagana mu miwendo gye byalo byebalina nakakaiiko kebyokulonda.

Minister agambye nti balina olukaklala lwe byalo emitwalo 6 mu 4,621, songa akakiiko kategese okulonda mu byalo emitwalo 60,800 byokka.

Kati agambye nti bwebanamala okulongoosa obuzibu buno ebyalo bino byakulonda abakulembeze baabyo.

Eno agam,bye nti ne byalo mu ttendekero lye Makarerere byakulonda abakulembeze oluvanyuma.

Abayizi ku ttendekero lye Makerere bababdde basabye akakiiko kebyokulonda okuyimiriza okulonda kwe byalo okutuusa nga bazeemun okusoma mu mwezi gomwunaana.

Bwabadde ayogera ne banamwulire e Makerere, akulira ekibiina kya FDC e Makerere Edmon Mugabe agambye nti abayizi kati bali mu luwummula songa betaaga okulonda abakulemeze baabwe abe byalo.

Abayizi kati bataddewo akakwakulizo nti tebagenda kwetaba mu kulonda okutuusa nga bakwongezaayo.

Eby’entambula olwaleero bisanyaladde e Mukono ng’abasimbyewo kubwa Ssentebe bw’ebyalo bayisa ebivvulu nga bagenda okwewandiisa.

Akulira eby’okulonda mu district eno eye Mukono Sarah Namugambe Kalyowa agambye nti okwewandiisa kutamubudde bulungi.

Ate okwewandiisa kw’abassentebe b’ebyalo mu district y’e Mpigi okwatandise olunaku lwe ggulo kuggaddwawo akakawungeezi kano wakati mu bbugumu eryamanyi.

Abatuuze balaze essuubi nti wanaabaawo emirembe n’obutebenkenvu mu bitundu byabwe kasita banaafuna obukulembeze obujjudde.

Ebiibiina byobufuzi ekya NRM ne DP byebisinze okuleeta abavuganya nga bonna omugatte bakunnukkiriza mu 300 okwetooloola district yonna.

Akulira ebyokulondesa mu district y’e Mpigi Flavia Mujurizi atubuulidde nti okuwandisa ba ssentebe kutambudde bulungi newankubadde wabaddewo okutaataaganyizibwa ebidongo, band n’ebivvulu ku mbuga z’amagombolola webabadde bawandiisiza.

Ate mungeri yeemu ekibiina kya NRM kitegezezza nga bwekigenda okuwangula okulonda kwebyalo nebitundu 90% nga bwebakoze mu kulonda lwabakyala okwawedde.

Bwabade ne banamawulire ku kitebbe kyekibiina ku Kyandodo Rd Plot 10, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina Dr tanga Odoi agambye nti batadeyo ba candidate abawerera ddala emitwalo 6, wabulanga ebitundu  29% tebavuganyiziddwa.

NRM era etegezeza nti egenda akuwa abantu baabwe abesibyewo 14,000 buli omu okubayambako okunoonya akalulu.

Bwabadde ayanukula aku bimubuziddwa nti ekibiina kigenda akusasanya obuwumbi 600 ku kulonda kwe byalo, Tanga Odoi agambye nti ebyojerwa ssi bituufu.

Agambye nti bagenda kusasanya aobukadde 900 bwokka nga kwebagenda aokugabira abesimbyewo ku kaada yekibiina.