Amawulire

Okuwandiisa abantu kati kyabuwaze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

ID registration

Ebbago ly’etteeka erikwata ku kuwandiisa abantu eryomwaka 2014 liyisiddwa palamenti

Wabula kino kibaddewo wakati mu kusika omuguwa ku buwaayiro obutali bumu okuli n’ako akakwata ku kuwandiisa abantu abalina ebitundu by’ekyama ebibiri.

Kano kyadaaki kajjiddwaamu era etteeka neriyita.

Etteeka lino lijja kukifuula kya buwaze omuntu okulaga obukakafu nti yawandiisibwa nga tannayambibwa mu kitongole kya gavumenti kyonna.

Amyuka ssabawolereza wa gavumenti omukulu Fred Ruhindi agamba nti kino kyakukendeeza ku banyaga obululu.

Wabula yye omubaka Nandala Mafaabi agamba nti etteeka terijja kuyamba kubanga tekikakata ku kakiiko kukozesa lukalala lw’abalonzi mu kulonda