Amawulire

Okuwandiisa abagenda okulonda ku byalo kukomekerzebwa lwaleero

Ivan Ssenabulya

October 30th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akakiiko kebyokulonda kasabiddwa kasabiddwa okwongezaayo entekateeka yokuwandiisa abagenda okulonda, abakulembeze bobukiiko bwe byalo.

Omulanga gukubiddwa abekibiina kya FDC.

Omumyuka womwogezi wekibiina Paul Mwiru ategezeza nti okusinziira ku byebafuna okuva mu byalo okwetoola egwanga, abantu tebanajjumbira.

Agamba nti abakiiko kebyokulonda tebakoze kusomesa bantu kimala, nga nabamu tebamanyidde ddala okulonda kugenda kutambula kutya.

Wano FDC erangiridde nti nabob agenda kwetaba butereevu mu kulonda kwa LC1 kuno.

Okwewandiisa kwabalonzi kukomekerezebwa olwaleero okusinziira ku kakiiko kebyokulonda.

Wabula aba NRM abali mu buyinza bbo balina ebiffo bino kyenkana 65%.

Okulonda kwebyalo nokwobukiiko bwabakyala kwakubaawo nga 14th ne 21st November 2017.