Amawulire

Okuwandiika abanaafuna obutimba bw’ensiri kutandise mu kampala.

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Ministry ekola ku by’obuamu esabye abakulembeze ba  kampala okukunga abantu bebatwala okugenda bwewandiise okufuna obutimba bw’ensiri mu kiwendo kino.

Bano okuvaayo nga ministry eno etegese okutandika okuwandika abantu wano mu kampala  leero abanaafuma obutimba buno, n’oluvanyuma okugaba obutimba kutandike.

Twogedeko ne minister omubeezi akola ku  by’obulamu Sarah Opendi n’agamba nti bagabye obutimba  buno mu uganda yonna, kale nga kampala yokka yekyasigadde.

Ono agamba nti kampala ekyaberarikiriza, kubanga abasinga ku batuuze tebasiiba waka, kale nga beetaga abakulembeza okubayambako okumatiza abantu  baweeyo olunaku bewandiise , era bafune obutimba.