Amawulire

Okuvvoola abaana kweyongedde- obubenje bwa boda bungi

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Kaihura again

Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti emisango gy’okusobya abaana gyeyongedde

Alipoota ey’omwaka oguwedde eraga nti okweyongera kuno kwa bitundu 18.4 ku kikumi

Bwegutuuse ku kuvvoola eddembe ly’abaana, wabaddewo okweyongera ddala nga kutuuse ku bitundu 38 kikumi.

Obukubagano mu maka nabwo bwaali bungi ddala nga bwalinnya n’ebitundu 18.4 ku kikumi okusingako omwaka guli

Bbo abantu bakyatwalira amateeka mu ngalo  era nga waliwo okweyongera mu misango gy’ekika kino ate nga n’abakuba amasasi mu bantu mu kyeyononero beyonodde

Wabula okutwaliza awamu, obuzzi bw’emisango bukendeddemu naye nga kibadde kitono

Emisango egikendedde, egyekuusa ku byensimbi nga gino gisse n’ebitundu 10, egy’ebiragalaragala ku 14.7%, ate obuzigu bwasse ebitundu  15.8 %

Bwegutuuka ku bubenje, buno bwakendeera omwaka oguwedde n’ebitundu 7.6 ku buli kikumi

Kuno kwekukendeera okwakasinga obunene mu myaka musanvu

Wabula ate bbwo obubenje obukolebwa bodaboda buzze bweyongera

Kino kissiddwa ku ba boda okuvuga nga batamidde.

Ng’afulumya alipoota eno, aduumira Poliisi Gen Kale Kaihura agambye nti okukendeera mu misango kwaava ku bantu okubeera obulindaala.

Kaihura era agambye nti bagenda kwongera okutendeka ba ofiisa baabwe ku kulwanyisa obumenyi bw’amateeka.