Amawulire
Okutyoboola eddembe ly’abantu kukendedde
Emisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu gikendedde mu ggwanga.
Kino kyeyolekedde mu alipooota efulumiziddwa akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga nga era eraze nga emisango gino bwegyakendeera omwaka oguwedde nga gyali 3,904 bwogerageranya ku 4753 egyaliyo mu 2013.
Emisango egisingamu okulinyirira eddembe ly’obuntu kuliko okutulugunya,okulagajjalira abaana, ssaako n’abantu okugalirwa mu buduukulu bwa poliisi okusukka essaawa 48 eziragirwa mu mateeka.
Alipoota eno eraga nga obuduukulu obusinga bwebulimu omujuzo nga abaana babugabana n’abantu abakulu sso nga n’enkola y’ekiddoli ekyakozesebwa mu buduukulu buno.
Ssentebe w’ekakiiko kano Meddie Kaggwa amenye poliisi, n’aba KCCA abakwasisa amateeka, nabakwasisa amateeka okuva mu kitongole ky’ebisolo byomunsiko nga abakyasinze okulinyirira eddembe ly’obuntu.