Amawulire

Okutembeya airtime ne card z’amasimu kuwereddwa.

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Akakiiko akakola ku by’empuliziganye aka Uganda communications commission kaliko amateeka amakali gekawade kampuni z’ebyempuliziganya , nga kino kigenderedwamu kukendeeza ku bakozesa esimu zino mubumenyi bwamateeka.

Kati bano basazeewo nti tewali agenda kukirizibwa kutembeeya oba kutunda airtime ne card z’amasimu  okujako nga afunye olukusa okuva mu kitongole kino.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire,akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kikanyizidwako nti anaasangibwa nga atunda airtime  oba card ku makubo waakukwatibwa mu bwangu.

Kati bano bakaanyiza nti abatunda card balina okuba n’ebyuma ebisoma endaga Muntu era nga bikakasidwa akakiiko kano, songa ne company zaakutwala obuvunanyiziibwa bwona obunaava kubunafu bwabwe.