Amawulire

Okutambuza kubo lya musaalaba kugenda mu maaso.

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah ne Ndaye moses.

Wetwogerera nga okutambuza ekubo lya musalaba kutandise , era  nga wano ku lutiko e Rubaga  okutambula kuno kusimbuddwa Ssabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga ayambibwako Faaza Joseph Mary Bbuye .

Bano nga bamaze okusaba, ssabasumba akukulembedemu  okutambula kuno  nga  bano bayise wano kanisa eya Yowana Maria Muzeyi mu kisenyi nebagenda ku St. Balikudembe , olwo neboolekera mu kisaawe kya Old Kampala.

Okusaba kuno era kwakukulemeberwamu ssabasumba yenyini.

Ate wano e Nsambya okutambula kukulembedwamu vicar general Rev Father Charles kasibante , nga nabo boolekedde old kampala secondary school. 

 

Abavude e Namirembe bakulembedwamu Bishop Kityo Luwalira nga nabo wetwogerera bataka wano ku old kampala.