Amawulire

Okusunsulamu abavuganya e Bugiri bakuyimirizza

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda ne Benjamin Jumbe

Akakiiko kebyokulonda kayimirizza okusunsulamu abanavuganya ku kifo kyomubaka wa munisipaali ye Bugiri mu palamenti.

Akulira ebyokulonda mu district eno Christine Kunihira okusunsulamu kubadde kwakutandika olwaleero, wabulanga waliwo abadukidde mu kooti okusaba entekateeka eyimirire era kooti kyeragidde.

Kunihira agambye nti kati balainze binaava mu kooti.

Okulonda kweno kwalangirirwa okubaawo nga 10 July.

Bino webijidde ngabantu babadde batanduise dda okujjayo empapula, okuvuganya.

Abamu ku bavuganya kuliko presidenti wa JEEMA Asuman Basalirwa nowa FDC Unice Namatende saako owa NRM Siraje Lyavala.

Ate kkwo okusunsulamu abanavuganya ku kiffo ebippya ebiralala ebyakatndebwawo kutandise olwalero nga kusubirwa kugalwalwo nga 6 omwezi guno.

Okusinziira ku mumyuka womwogezi wakaiiko kebyokulonda Paul Bukenya, kuliko ebiffo byababaka muzzi munisipaali Apac, Nebi, Ibanda Kotido, Sheema nebiffo byabazi ssentebbe ba district ne division.

Omugatte ebiffo 2,828 byebyokujjuzibwa.