Amawulire

Okusunsula mu baalondebwa kuwedde- ssabalamuzi awera

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Bart Katureebe

Okusunsula abalondebwa ku bwa Minista kufundikiddwa.

Muno mwemubadde ne ssabalamuzi omuggya Bart Katureebe kko n’omumyuka we Steven Kavuma

Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyita mu kakiiko akasunsula abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga, Katureebe agambye nti wakuyimirira nga yetongodde era ng’obwenkanya kw’ajja okutambuliza ensonga

Ono era asaabuludde abantu byebabadde batandise okwogera nti ayinza okukyuka engeri pulezidenti gyeyamuwadde omulimu

Agambye nti kw’agenda okussa essira gw’omuwendo gw’abalamuzi  kyokka nga kino kyetaaga ssente era nga wano w’asinzidde n’asaba gavumenti okwongera ku nsimbi z’awa ekitongole ekiramuzi

Katureebe yalondebwa okudda mu bigere bya Benjamin Odoki

Bbo ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma mu kakiiko akakakasa ababa balondeddwa omukulembeze w’eggwanga.

Bano babadde balaga obutali bumativu bwabwe ku neyisa y’omulamuzi Steven Kavuma eyalondebwa ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga nga bamulumizriza okweyisa mu ngeri atasaana.

Ababaka bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu bategezezza  nga bwebatayinza kubeera bamu kwabo abagenda okukakasa omuntu atayise mu mateeka okufuna ekifo kino nga era bamulumiriza okubeeramu kyekubira.

Ate ababaka ba palamenti okuva mu bukiikakkono bw’eggwanga baddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya eky’okulayiza ba minisita abalondebwa

Bano abakulembeddwaamu omubaka Hassan Fungaroo Hassan agamba nti olukalala lwa ba minisita lwaalimu obutenkenya ng’ebitundu ebimu byafunamu okusinga ebirala

Fungaroo agamba nti obugwanjuba bwebwasinga okufunamu ate ng aba minisita balina okuva mu bitundu byonna.