Amawulire

Okusonda eza masiro kuddmau leero

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Katikkio mu kampala

Kawefube w’okusonda ettafaali ly’amasiro ge Kasubi addamu okutojjera olunaku olwaleero.

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero wakukuba olusisira mu bimuli bwa Bulange okwaaniriza abantu abagaala okuwaayo ettafaali.

Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti abantu ba Ssabasajja okuva mu masaza omuli Kyadondo, Busiro Kyagwe n’amalala beebasubirwa okwetaba mu kusonda kuno.

Walusimbi era agambye nti entekateka za Katikiro okusisinkana aba polisi mu kusonda ettafaali nga 23 omwezi guno zigenda bukwaku.