Amawulire
Okusomesa eby’emikono kube kwabwerere.
Bya Samuel Ssebuliba.
Minisitule ekola ku by’enjigigiriza esabiddwa okutandika okusomesa abaana mu masomero g’eby’emikono ku bwereere, kino kikendeeze ku bantu abayigga emirimo olw’obutaba na buyigirize.
Kinajukirwa nti mukaseera kano, okusoma mu primary , secondary ne universrty kuyambibwako gavumenti songa yo mumasomero g’eby’emikono okusoma kwa nsimbi.
Twogedeko n’omubaka we Nyabushozi Col Fred Mwesigye nagamba nti mukaseera kano egwanga teririna bantu balina mirimo gy’amumutwe, kale nga kyamakulu okutandika okusomesa abaana ku mutenedera gano ku bwerere.