Amawulire

Okusobya ku baana e Kamuli Kungi

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

 

Raped gal

Omuwendo gw’abaana abasobezebwako mu district ye Kamuli gweyongedde okulinya.

Omwaka oguwedde abaana 460 bebasobezebwako ate emisago 153 egyekuusa kubutabanguko mu maka gyegyalopebwa ku polisi.

Akulira ekitongole kya polisi ekikola kunsonga z’abaana mu district ye Kamuli Richard Kagoda agambye nti ebikolwa bino biziza nyo abaana emabega nadala mu kusoma.

Kagoda agambye nti abazadde bangi balwawo okuloopa emisango byokusobya ku baana ku polisi, ekivirako emikolwa bino okweyongera.