Amawulire

Okusima Omusenyu e Mukono Kwolekedde wa Kalisoliiso

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukubiriza wolukiiko lwa district ye Mukono Emmanuel Mbonye alangiridde entekateeka, okwekubira enduulu mu wofiisi ya kalisoliiso wa gavumenti ku kusima omusenyi okumenya amateeka okugenda maaso ku ttaka lya gavumenti mu ggombolola ye Mpunge.

Kino kidiridde akakiiko akabangibwawo okugenda okunonyererza mu wiiki bbiri okulemwa okwanja alipoota mu bbanga eryabweebwa kati mwezi mulamba nokusoba.

Okusima omusenyi okwogerwako abatuuze bagamba kuviriddeko amakubo okuggalwa entambula nensanyalala nabaana kati tebakyasobola kutuuka ku masomero.

Wabula abakulembeze e Mukono bwebatukako eno wakati mu abasima omusenyu balumiriza ssentebbe wa district nti yali emabega wa byonna, nga abajjamu ne ssente. Bino babimugamba maaso ku maaso.