Amawulire

Okusiiga evvu- ekisiibo kitandise

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

Ash wednesday

Olunaku olwaleero abagoberezi ba Kristu lwebasiigibwa evvu nga akabonero akalaga okutandika ekisiibo.

Ekisiibo kino kikulungula ennaku 40 era nga kifundikirwa na bikujjuko bwa mazuukira

Ebikumi n’ebikumi by’abagoberezi bano bakweyiwa mu makereziya basiigibwe evvu lino mu byenyi byaabwe.

Evvu lino lijjibwa mu bisansa, akabonero ka mataba aganyeenyebwa ku lunaku lw’amatabi olw’omwaka oguba gwaggwa

Ku ekelezia y’o mutukuvu Petero e Nsambya mukusaba okwetabiddwamu ne Kalidinaali Emanuel Wamala enkya ya leero, abakiriza bakubiriziddwa okuba abetowaze mu biseera eby’ekisiibo.

Ate e Mubende ng’ayimba ekitambito ky’emmisa, bwanamukulu Ng’ayimbisa mitambiro kya missa, bwanamukulu we mubende, Emmanuel Mwerikande asabye  abakristu  okunyikirira ensonga essatu ezikola ekisiibo ekituukiridde.

Muno mwemuli okwagalana, okusiiba n’okugabira abatalina.

Rev Father Emmanuel Mwerikande era ategeezezza nga bwebataddewo ekisero ku eklezia eri abantu abagala okuwaayo eri abatalina.