Amawulire

Okusabira Obwakabaka kubadde mu mizikiti

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Wabaddewo okusaba okwenajawulo okwetolola obwakabaka bwa Buganda olwaleero, mu kwetegekera amafugga ga Buganda agokubawo ku Sunday eno.

Minister webyamawulire, Owek. Noah kiyimba yakikiridde obwaka bwa Buganda mu kusaba ku muzikiti gwa old kampala nga yasomye ekiwandiiko okuva mu office ya Katikkiro wa Buganda.

Okusaba  kubadde kukulembedwamu Mufti sheik Shaban Mubajje ngasabye wabeewo empisa nga bwekirambikibwa nemu kitabo kya quran, ekitukuvu.

Atte kumuzikiti e Kibuli okusala kukulembedwamu supreme mufti sheik Siliman Kasule Ndiragwa ngasabidde egwanga libeemu emirembe nobwakabaka awamu ne kabaka, sigale ku Nmaulondo.

Eno obubaka busomedwa Hajj Ahmed Lwasa.

Kati okusinziira ku minister avunanyizibwa ku nkola yabulungi bwansi nentambula za kabaka owekitiibwa Mariam Nkalubo Mayanja ku Lwomukaaga, enkya okusaba kwakubeerawo mu Badiventi e Kireka nemu makanisa amalala.

Omutanda wakutandika okulambula Kampala olunnaku olwenkya ku Lufuula ya Old Portbell, oluvanyuma atongoze okusimba emiti mu Kampala ku Kisasi P/S ate n’okulambula enkola y’omukka ogufumbisibwa (Biogas) e Kyanja.

Ku ssaawa mukaaga wakulambula Mailo ya Bulungibwansi mu ggombolola ya Mutuba II e Nabweru ate oluvanyuma alambule amaka amalungi e Buziga mu Mutuba III Makindye.

Ku ssaawa mwenda wakutongoza enkola y’okwawula kasasiro mu Nsiike Zooni e Ndeeba olwo ku ssaawa 11 ez’olweggulo alambule akatale ka St. Balikuddembe (Owino).

Ku Ssande gy’emikolo emikulu egya Bulungibwansi n’okujjukira obwetwaze bwa Buganda nga gyakubeera ku Old Kampala SS mu ggombolola Mutuba IV mu masekati ga Kampala.